Browsing by Author "Mulondo, Peter"
Now showing 1 - 1 of 1
Results Per Page
Sort Options
- ItemOkwekeneenya Ensonga Eziremesa Abayizi Okwekakasa Okuwandiika Olulimi Oluganda Mu Masomero Ga Ssekendule Ku Ddaala Ly’owabulijjo(Kampala International University, school of Arts with education, 2018) Mulondo, PeterOkunoonyereza kuno kwesigamizibwa ku mutwe “Okwekenneenya ensonga eziremesa abayizi okwekakasa okuwandiika olulimi OLuganda mu masomero ga ssekendule ku ddaala Iy’owabulijjo” Omunoonyereza yeeyambisa enkola eya nnakanyonnyozi okusobola okuzuula ensonga eziremesa abayizi okwekakasa okuwandiika olulimi Oluganda mu masomero ga ssekendule ku ddaala Iy’owabulijjo. Omunoonyereza yakozesa abasomesa kkumi (10) nga baava mu Mukono Ddisitulikiti mu Ggombolola y’e Namuganga wamu n’abayizi asatu mubataano (35) aba siniya eyookuna n’eyookusatu. Mu masomero agaalondebwamu gonna abasomesa n’abayizi abasinga obungi baalaga nti empandiika entongole yaamugaso nnyo en omuyizi w’oluganda ku ddaala Iy’owabuI~jo kubanga emuyamba okuyiga enjatula y’ebigambo, okuzimba sentensi, enkyukakyuka y’ebigambo okusinzHra wekiri. Era kyazuulibwa nti, waliwo ensonga eziwerako eziremesa abayizi okwekakasa empandlika entongole nga munoi mulimu ebbula Iy’ebitabo by’empandiika entongole, abasomesa bennyini okuba nga nabo tebeekakasa mpandiika ntongole, abayizi obutaba namutima musomi, abasomesa abatendeke mu lulimi bakyali bayono. Omunoonyereza yagenda mu maaso okuzuula engeri abayizi gye bayinza okuyambibwa okwekakasa empandiika entongole nga muno mwalimu abazadde okutwala ekifo ekisooka okwagazisa abaana olulimi n’okubawa emirimu gy’okuwandiika awaka, abasomesa okutegeka emisomo egikwata ku mpandiika entongole, okutondawo ekibiina ky’olulimi Oluganda mu ssomero, abayizi okwenyigira mukuwandilka mu kibiina, n’ebirala. Nga singa bissibbwako omulaka abayizi bajja kuyambibwa okwekakasa empandlika entongole