Engeri Okusoma Ebyobuwangwa Ku Ddala Lya Sekendule Gye Kusobozesaamu Abayizi Okukuuma Obutonde Bw’ensi

Loading...
Thumbnail Image
Date
2017-04
Journal Title
Journal ISSN
Volume Title
Publisher
Kampala International University ,College of Education, Department of Open and E-distance Learning
Abstract
Okunoonyereza kuno kwakolerwa mu disitulikiti y’e Kampala mu bantu abaasoma ebyobuwangwa by’Abaganda mu lulimi Oluganda ku ddaala lya sekendule, abaamala emisomo gyabwe nga kati bakola awarnu n’abo abakyali abayizi mu matendekero ágaawaggulu. Ekitundu kya disitulikiti y’e Kampala kyalondebwa olw’okuba nti kirimu abantu bangiko abaamala okusoma nga kati beekolera mirimu gyabwe naye nga baasomera ebyobuwangwa mu lulimj Oluganda mu sekendule mu masomero ag’enjawulo okuva mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo mu myaka egy’enjawulo, nga mu kiseera ky’okunoonyereza kuno baali beekolera mirimu gyabwe mu kibuga Kampala. Ate mu ngeri endala, ekitundu kino kirimu amatendekero mangiko agasornesa olulimi Oluganda ku ddaala lya settendekero, nga ki no kyayanguyiza orn ynoonyereza oku sobola okutuukirira abantu abaaliko abayizi b’olulimi Oluganda abawerako abaasornera ebyobuwangwa mu sekendule mu masomero ag’enjawulo okwetoolôola eggwanga era mu myaka egy’enjawulo. Abantu abaaliko abayizi b’olulimi Oluganda ku ddaala lya sekendule baalondebwa iwa nsonga nti be basobola okulaga obulungi oba nga ebyobuwangwa ebyabasomesebwa ku ddaala lino birina engeri gye bibayambyemu mu kwetaba mu nkola z’okukuuma obutonde bw’ensi, okuviira ddala lwe baali bakyali ku masornero gaabwe okutuukira ddala we bali mu matendekero agaawaggulu oba mu buvunaanyizibwa obulala bwe balina.
Description
Alipoota Y’okunoonyereza Olw’okutuukiriza Ebisaanyizo Bya Ddiguli Y’obusomesa Esookerwako Eya Settendekero W’e Kampala International University .
Keywords
Okusoma, Ebyobuwangwa
Citation