Please use this identifier to cite or link to this item: http://hdl.handle.net/20.500.12306/2491
Title: Engeri okusoma ebyobuwangwa ku ddala lya sekendule gye kusobozesaamu abayizi okukuuma obutonde bw’ensi
Authors: Ssemanda, Arapha
Keywords: Ebyobuwangwa
Abayizi
Issue Date: Aug-2017
Publisher: Kampala International University ,College of Education
Abstract: Okunoonyereza kuno kuli ku mutwe: “Engeri okusoma ebyobuwangwa ku ddaala lya sekendule gye kusobozesaamu abayizi okukuuma obutonde bw’ensi.’ Noolwekyo kwagenderera kuzuula ngeri ebyobuwangwa by’Abaganda ebisomesebwa mu sekendule gye bisobozesaamu abayizi okukuuma obutonde bw’ensi. Oluvannyuma lw1omunoonyereza okulaba obwetaavu bw’okunoonyereza ku mutwe guno yabaga ebigendererwa byagwo, n’aggyamu ebibuuzo, era nga bino bye byamulunnamya mu kunoonyereza kwe nga afuba okubifunira ebyokuddamu ebituufu era ebyesigika. Omunoonyereza yasoma ebitabo ebiwerera ddala, nateekateeka bulungi ebbago ly’okunoonyereza kuno. Ebbago bwe lyamala okukkirizibwa era n’aweebwa nebbaluwa ennyanjuzi okuva mu kitongole kyEby’ennimi n’Empuliziganya mu settendekero wa KIU yatuukirira abantu ab’enjawulo abawerera ddala abaali babaddeko abayizi b’olulimi Oluganda ku ddaala lya sekendule okusobola okubafunamu eby’okuddamu ebyali byetaagisa okuzuula. Oluvanyuma, omunoonyereza yeekeneenya ebyaktnynaanyizibwa era nabiyungulula ko n’okubitaputa mu ngeri ey’ekikugu. Okusinziira ku byava mu kunoonyereza kuno, kyakakasibwa nti omulanga gwensi yonna ogw’okudobonkana kw’ embeera y’obudde, ko n’okufaafaagana kwobutonde bwensi mu ngeri endala zonna, gusobola okwanukulwa obulungi okuyita mu nsomesa yebyobuwangwa eyomulembe mu bantu ab~enjawu1o mu masomero nebweru wamasomero okusobola okubataba mu kaweefube w’okukuurna obutonde bwensi awatali kubakatuubiriza. Ebyazuulibwa biwerako era nga birambikiddwa bulungi mu alipoota eno. Bya mugaso nnyo ed abantu bonna abafaayo en ensi, okwo ssaako abanoonyereza ku by’obutonde bw’ensi, ko n’abanoonyereza ku byobuwangwa okutwalira awamu.
Description: A lipoota y’okunoonyereza olw’okutuukir!za ebisaanyizo bya ddiguli y’obusomesa esookerwako eya settendekero w’e Kampala International University
URI: http://hdl.handle.net/20.500.12306/2491
Appears in Collections:Bachelor of Education

Files in This Item:
File Description SizeFormat 
Ssemanda Arapha.pdfFull text5.27 MBAdobe PDFThumbnail
View/Open


Items in DSpace are protected by copyright, with all rights reserved, unless otherwise indicated.