Okwekeneenya ebizibu abayizi ba Kampala International University bye basanga mu mpuliziganya

Thumbnail Image
Date
2010-11
Journal Title
Journal ISSN
Volume Title
Publisher
Kampala International University, College of Education Open and Distance Learning
Abstract
Okunoonyereza kuno kweesigama ku mutwe; "Okweekeneenya Ebizibu Abayizi ba Kampala International University bye basanga mu mpuliziganya." Okunoonyereza kuno kweesigama mu ttendekero lya Kampala International University okuviira ddala ku bayizi b'omwaka ogusooka (1st Year) okutuuka ku gw'okusatu ate wamu n'abo abaakuba oluku mu mutwe emisomo gyabwe. Ettendekero lya Kampala International University lissangibwa Kansanga mu Ggombolola y'e Makindye mu disitulikiti ye Kampala. Omunoonyereza yeekeneenya ebizibu abayizi mu ttendekero eryo waggulu bye basanga mu mpuliziganya nga mwe muli abayizi wamu n'abasomesa (lecturers) okwekwata omusobooza, ekikula ky'omuntu gamba ng'entunula embi, embeera y'obudde ng'enkuba, endowooza z'abantu ab'enjawulo, obutaba na kwagala okuva ku kyokola, eby'obufuzi, embeera y'omuntu embi, obufunda bw'ettendekero lino, obulemu ku mubiri gw'omuntu, n'ebizibu ebirala nga bwebiri mu bulambulukufu mu maaso eyo.Omunoonyereza yeeyambisa ebibuuzo ebyogere ng'abuuza abayizi ebizibu byebasanga mu mpuliziganya.
Description
Alipoota y'okunoonyereza olw'okutuukiriza ebisaanyizo bya Ddigulieya Bachelor of Arts with Education mu Kampala International University
Keywords
Ebizibu, abayizi, Mpuliziganya
Citation